Taata wa Mukiibi ye yali Sseggululigamba eyabeeranga e Malanga mu bizinga e Ssese. . Erinnya eryo nga bwe liwulikika ssi lya kika kya Lugave era kino kikakasa nti Mukiibi Ssebuko teyazaalirwa mu kika wabula ekika ky’Olugave yatondawo kitonde oluvannyuma. Kiwanuuzibwa nti Mukiibi yayagala nnyo okuyigga era olumu yakwasa akasolo ak’ensonyi akaakwekanga amaaso gaako. Okusooka Mukiibi yali atuumiddwa erinnya Kansonyi.
Bw’akwata akasolo nako akaalina ensonyi n’akayita muganda wa Mukiibi anti ye yali Kansonyi. Kaamusanyusa nnyo era bw’atyo n’akatwala eka n’akateeka mu eggave akakuumire omwo ng’akasolo ak’awaka.
Oluvannyuma akasolo akaali katamanyiddwa linnya wabula nga kayitibwa “akasolo akali mu ggave” oluvannyuma kaakazibwako erya ggave bwe lityo ne lifuuka Lugave era Mukiibi yakakwanira ddala olw’ensonyi zaako ze yataputa ng’akabonero akalaga OBUNTUBULAMU. Olwo anti akafuula omuziro (nti tebanga akakola ekibi).
Mukiibi yava Ssese n’ajja ku lukalu okusenga Kabaka Bemba eyamuwa Ddamula amufugireko Obuganda. Yatuula nga WASSOZI okumpi ne Naggalabi mu Busiro awaali olubiri lwa Bemba. Mu byafaayo bya Buganda mulimu bakabaka abaali abakambwe ennyo eri abantu baabwe wabula Bemba bonna yabanywamu akendo kubanga yakambuwala n’asukka, n’aliisa abantu be akakanja. Mu bukambwe obwo mwe yattira abaana ba musajjawe Mukiibi babiri era olw’okulowooza nti Mukiibi ayinza okuwoolera eggwanga ne Mukiibi kata amumize omusu singa teyalabuka n’amalamu omusulo bwe yadduka ne yeddirayo e Ssese. Okuddayo e Ssese Mukiibi yaddukira mu lyato lye NANKINGA eryamanyibwa era na guno gwaka gyeriri nga likuumibwa ow’essiga Ssettuba e Dundu mu Busiro.
ERINNYA LYA MUKIIBI
Mukiibi yali tayitibwa Mukiibi wabula Kansonyi. Kansonyi ono bwe yali ava e Ssese kitaawe n’amulabula obuteeramba nnyanya kubanga yali nzibu okuyitamu emirembe naye agiyite bbali bali oba agikiibe. Bw’atyo yagiyitako ng’agikiiba bukiibi era awo we watandikira erinnya lya Mukiibi eyakiiba ennyanja.
ERINNYA LYA “SSEBUKO”
Mu ngeri emu Mukiibi yali Ssabaganzi ewa Kabaka Bemba kubanga mwannyina yali muzaana ewa Kabaka ate mu kiseera kye kimu ng’akola nga Katikkiro we. Bemba bwe yataama n’atta abantu n’abaana ba Mukiibi babiri tebaalutonda. Mukiibi alaba biri bityo n’asalawo okusegulira Kabaka era Abaganda we baatandikira enjogera egamba nti : “Ssebuko bunaafa obulabira ku nsugga.” Omuko gy’afa yenkana aweebwa nkoko ku buko naye nnyinimu(Kabaka) bwe yakka ku baana be (aba mukoddomi we nabo n’abatta) obuko bwalibutuse okufa. Bwe batyo abantu Mukiibi ne bamupaatiikako erinnya erya Ssebuko.
ebirala >>