AMASIGA
Abaana omukulu w’ekika eyasooka be yazaala ge Masiga. Amasiga tegenkana bungi mu buli kika kubanga n’okuzaala kw’abataka b’obusolya tekwafaanana. Mu nteekateeka z’ebika ebimu amasiga gonna tegaba ga baana ba jjajja w’ekika omubereberye kubanga olw’okulongoosa mu nzirukanya z’ebika ebimu, abakulu b’ebika baagaziya mu masiga ne gaba mangi okusobola okutuusa empeereza y’ekika mu bitundu eby’ewala. n’ebitebe eby’enjawulo mu kika.
EMITUBA
Emituba nagyo be baana b’abamasiga oba abazzukulu b’omukulu w’ekika ab’omugigi ogusooka. Era okufaanana ng’Amasiga mu bika ebimu, nga bwe tulabye waggulu, n’abakulu b’amasiga basobola okwongera ku bungi bw’emituba olw’ensonga ez’enjawulo naye nga mu kugaziya amasiga oba emituba n’ebifo ebirala wansi w’emituba kimala kwe kkaanyizibwako nnyo era obwetaavu ne bukakasibwa.
EMITUBA EMIRANGIRA
Mu bika bingi mulimu emituba emirangira ng’egyo gye givaamu abalya obukulu bw’ebika ebyo wabula mu bika ebimu omukulu w’ekika alondwa okuva wonna mu kika. Emituba emirangira gyajja bwe giti: Ka tutwale ekyokulabirako mu kika ky’Olugave. Omutaka Mukiibi Ndugwa omubereberye yazaala abaana ne bafuuka ab’amasiga. Wabula yali tannafa ne yeetikkula obwa Ndugwa n’abuwa mutabani we Simwogerere Mulangwa eyafuuka Ndugwa owokubiri. Abaana ba Mulangwa olwo baali batuuka butereevu ku kasolya nga tebalina Ssiga mwe bayisa nsonga za kika kyabwe. Olwokubanga obwa Ndugwa bwali bwa nsikirano olwo ba Ndugwa bonna abaddawo nga balina kuva mu baana ba Simwogerere. Okuva olwo abaana n’abazzukulu ba Simwogerere ne bafuuka balangira ate nga bamituba .Egyo gy’emituba emirangira.
ENNYIRIRI
Ennyiriri mu kika be baana b’abemituba era ennyiriri eziva mu mituba emirangira nazo ziba nnangira.
EMPYA
Nga bwe tulabye waggulu abakulu b’empya be baana b’abakulu b’ennyiriri. Naye waliwo ekitategeerekeka bulungi bwe twogera ku mpya Tulina empya za mitendera esatu: Buli nnyumba ebeera n’Oluggya nnyinimu mw’ayinza okukugoba nti vva mu luggya lwange. Olwo luba kitundu kya nnyumba ye. Oluggya olwokubiri luba lwa mwami yenna owessaza, oweggombolola n’omulala. Abantu be bangi bamukung’anirako olwo ne baba oluggya olunene ddala. Omwami oyo asobola n’okusalawo aziikibwe awo ewuwe ne wafuuka ekiggya kye. Oluggya olwokusatu era lwe twogerako wano y’enteekateeka y’ekika okusinziira ku ntegeka y’ekika nga bwe tulabye waggulu. Nolwekyo oyo yenna ayinza okulowooza nti ava mu luggya lwa jjajjaawe azaala kitaawe aba tategeeza luggya lwa kika okuggyako nga ddala lwe lwo lwe twogerako wano.
ENNYUMBA
Ennyumba be baana b’abakulu b’empya. Mu biro eby’edda ng’abaana bwe bakula baweebwa ku luggya we basobola okuzimba ennyumba nga buli omu azimba ennyumba ye ku luggya okwo okutuusa lw’atuuka okwetongola, nga afunye ekibanja ekikye, olwo n’ava ku luggya lwa kitaawe. Kale ne bw’aba yava dda ku luggya era abalibwa okuba n’ennyumba ku luggya lwa kitaawe (oluggya olusooka). Mu nteekateeka gye tulabye waggulu ennyumba ziba nnyingi okusinga empya ate empya nga nazo ze zisinga ennyiriri obungi. Ennyiriri ne ziba nazo nga nnyingi okusinga emituba era bwe gityo emituba ne giba mingi okusinga amasiga agafundikira mu kasolya ka jjajjabwe omukulu w’Ekika
<< ebisose