Omutaka |  Lugadev | Akakiiko akateesiteesi |  Obukulembeze bw'Ekika | Ensozi za Ab'Olugave Enkulu
 Ekika Ky'olugave
 Amannya
 Okwebaza
 Entandikwa
 y'Ekika
 Omutaka Mukiibi  Ssebuko
 Emirimu Gy'olugave
 ku Kabaka
 
 
 
 
 
Ebifananyi
Okusiima
 
 
 
 
 

Embuga y'Omutaka Ndugwa
P.O.Box 27307, Kampala
Email: lugave@lugave.ug
Tel:
+256(39)2948531
+256(77)2712210

 
 
  Entandikwa
  Entandikwa Y'ekika Ky'Olugave

Twalabye ng’Ekika ky’Olugave kimu ku bika ebisinga obukadde mu Buganda era ekyogerwako nga KINNANSANGWA Kibalirirwa okuba nga kiweza emyaka egisukka mu lukumi (1000) kasookanga kitondwawo Omutaka Mukiibi Ssebuko.

Mukiibi ng’amaze okulonda Olugave okuba omuziro ate n’alonda Enfudu okuba akabbiro mpozzi olw’okujjukira omuzira Nfudu bwe baalwana olutalo lwa Bemba. Naye oluvannyuma akabbiro ak’enfudu yakakyusa bwati: Nga bwe twalabye Mukiibi yayagala nnyo okuyigga era olumu bw’aba agenda agoba ensolo kwe kutuuka mu kifo ekyo eky’e Ssekiwunga ekyamulabikira obulungi okusinga ebifo bingi bye yali alabye. Bwe yatuuka e Ssekiwunga n’agamba abantu be nti : “Wano wendigwa e Kapeeka muzzaangayo luwanga,” era bwatyo n’akubawo embuga ye. Era awo wewava n’omubala “Lwa Ndugwa Lwa Katende..”

Naye olumu aba ayigga n’alaba obutiko Sulaawalungi(AMALEERE) nga bumeze ku limu ku matabi g’omuti. Ettabi eryo lyali lyawogoka. Mukiibi yalagira omu ku batabanibe amuleetere enkandaggo (eddaala) alinnye aggye obutiko obwo. Abantu be baagezaako okumuziyiza okulinnya kubanga baalaba ettabi nga liri majenjeeke nga liyinza okumusuula. Omutaka yeefuula Kayemba Nantabuulirirwa eyasaabala obw’ebbumba bwatyo n’alinnya omuti. Aba tannaba na kutuuka ku maleere ettabi ne liwogoka ne yeekuba ennume y’ekigwo kata emutwale ezzirakumwa. Eka baamuddizaayo mu mikono era yamala akabanga ng’ali kundiri. Bwe yawona n’alangirira nti “Gye buliva ne gye buligenda tewabanga ow’endaaye alya amaleere.”
Okuva olwo Amaleere ne gafuuka akabbiro k’ab’Olugave. Ng’oggyeeko Omuziro n’akabbiro, buli kika ate kirina ebintu ebirala ebikyawula okuva ku kirala. Ekimu ku bintu ebyo gwe MUBALA. Omubala gw’ab’Olugave guvuga nti:

Lwa Ndugwa lwa Katende

Sseruku lulengejja, ssimanyi lunangwira

Bw’ompa akawala ako, ng’ebbanja liwedde

Omubala gutera okubaamu obubaka bw’Omukulu w’ekika, ne mubaamu ogw’ekika kyonna ate oluusi n’amasiga kwe gongereza egyago.

Send SMS
Email (login here)
Get email address