1. Kasujju Lubinga y’akuuma abalangira era y’aleeta omulangira
agenda okulya Obuganda. Kasujju y’omu ku Bataka abasumika
Kabaka n’abalangira ab’eng’oma
2. Natiigo y’avaamu akuuma Omuzaana Nanzigu.
3. Myamba y’avaamu omutuuza omukulu n’abatuuza ba Kabaka.
Omutuuza omukulu yakuuma omwaliiro gw’ekiwu.
4. Kawuula y’akuba Mujaguzo era y’akulira omwaliiro gwonna ogwa
Mujaguzo.
5. Kasoma y’aggula Kabaka ng’amaze okwabya olumbe lwa kitaawe
era y’akuuma ejjembe lya Kabaka eriyitibwa Nantaba, era y’ekabejja.
6. Mpinga omumbowa mukulu ava mu Kasoma.
7. Senkoole y’aleeta enfuuzi ekoleeza ekyooto Gombolola.
8. Masiko ye mulimi wa Kabaka omukulu.
9. Nalungu y’akuuma olusozi lwa Kabaka e Ssumba.