Nga bwe twalabye enteekateeka y’ebika awo nno n’ekika ky’Olugave kyategekebwa ku musingi gwe gumu mu ngeri eno:
AKASOLYA
Eno yembuga eyo ku ntikko mu kika ng’ekulirwa Omutaka Ndugwa.
AMASIGA
Gano gawerera ddala kkumi na musanvu era ge gano:
1. Kyabasinga Nyombi e Nakirema Busiro
2. Nswaswa e Nanvule
3. Ssenkusu e Wassozi Busiro
4. Kakulukuku e Nnono Busujju
5. Ssebwana e Ganda Busiro
6. Kasoma Nakatanza e Migadde Kyadondo
7. Kiwanda Natiigo e Magala Singo
8. Kagolo ssebugulu e Kanyike mawokota
9. Ssettuba e Dundu Busiro
10. Ssekiwala e Kangavve Bulemezi
11. Tonda Namugwanga e Bubwa Kyaggwe
12. Myamba Ssebiiso e Ndugu Kyaggwe
13. Jooje e Nsonga kyaggwe
14. Kaweekwa e Gangu Kyadondo
15. Kigenyi e Lwaje Buvuma
16. Ntambi e Gaba Kyaggwe
17. Ggere e Malanga Ssese
EMITUBA
Amasiga gabeeramu emituba mingi naye tetunnasobola kugalaga wano gonna.
EMITUBA EMIRANGIRA
Gino gy’emituba emirangira:
1. Kasana e Sekiwunga Katende Mawokota
2. Nalungu e Sumba Busiro
3. Kalyabukejje e Kingo Buddu
4. Nalukadde e Bukerere Kyaggwe
5. Sebiranda e Kunywa Busiro
ENNYIRIRI,EMPYA N’ENNYUMBA
Zino nyingi nnyo nga tetunnasobola kuziteeka wano zonna bu mu bujjuvu.