Mu kika ky’Olugave mulimu amannya ageeyawulidde n’amasiga oba emituba egy’enjawulo nga gatuumwa mu masiga oba mituba egyo gyokka. Wabula amannya agava mu mituba emirangira go gabuna mu kika kyonna songa amannya ag’amasiga gatuumwa mu masiga ago gokka. Wabula entabukatabuka mu bika teyalema kutuuka na mu Lugave kubanga we tuwandiikidde nga buli omu atuuma erinnya nga tamaze kukakasa oba lya ssiga lye oba nedda. Mu ngeri eno amannya gatabusetabuse naye nga tulowooza nti gayinza okuterezebwa nga bwe tunaalaba mu maaso eyo.
EMITUBA EMIRANGIRA
Mu kika ky’Olugave mulimu Emituba egiyitibwa emirangira. Gino giva mu Simwogerere Mulangwa, Ndugwa owokubiri, mutabani wa Mukiibi Ssebuko,omutandisi w’ekika ky’Olugave..
Simwogerere Mulangwa yaweebwa obwa Ndugwa nga musajja mukulu eyali amaze okuzaala n’abaana . Mu ngeri eya bulijjo Simwogerere yalibadde mukulu wa ssiga naye bwe yalya obwa Ndugwa nga takyasobola kuba wa ssiga . Naye okufuuka Ndugwa tekwakyusa mbeera ya baana be abaali ab’emituba, yali tasobola kubawa muganda we mulala akolenga ku nsonga zabwe. Bw’atyo yasigala abakolako ng’ab’emituba. Tujjukire nti obusika bw’Abaganda bwa nnono n’olwekyo abaana ba Simwogerere baafuuka abasikira obwa Ndugwa okuva olwo okutuusa leero.
Gino gy’emituba emirangira:
1. Kasana e Sekiwunga Katende Mawokota
2. Nalungu e Sumba Busiro
3. Kalyabukejje e Kingo Buddu
4. Nalukadde e Bukerere Kyaggwe
5. Sebiranda e Kinywa Busiro
Gano ge gamu ku mannya g’Abalangira n’Abambejja mu kika ky’Olugave:
Abalenzi
Gadanga, Jooga, Katende, Kakikka, Katamba, Katambazi, Kinene, Kirinnya, Kibiina, Kavuma,Kifulukwa, Kigaanira, Nyomyo, Kajabaga, Kinnanga,Lulyo,Luwalira,Luttamaguzi, Lugonja,Malunda,Mitigyakibira, Masiko,Mulangwa,Mutyaba,Munyagabyanjo, Mukiibi, Mbegera,Mbaggo,Mukungu,Muleera, Musoowooko,Mpagi,Musajjawaza, Nalukadde, Nambago,Naluswa, Ssebide, Sekyegobolo, Semakula.,Serunjogi, Simwogerere,Seruntenga, Sembuzi, Ssekkadde, Sezzigo, Sekaggo, Tebuseeke,Tukke, n’amalala.
Abawala
Namakula, Nabukalu, Najooga, Nabatanzi, Nalweyiso, Nakitende, Nassirye, Nalubira, Nabuggo, Naluntenga , Nantalaafu, Nampya ,n’amalala.
ebirala>>