Omutaka |  Lugadev | Akakiiko akateesiteesi |  Obukulembeze bw'Ekika | Ensozi za Ab'Olugave Enkulu
 Ekika Ky'olugave
 Amannya
 Okwebaza
 Entandikwa
 y'Ekika
 Omutaka Mukiibi  Ssebuko
 Emirimu Gy'olugave
 ku Kabaka
 
 
 
 
 
Ebifananyi
Okusiima
 
 
 
 
 

Embuga y'Omutaka Ndugwa
P.O.Box 27307, Kampala
Email: lugave@lugave.ug
Tel:
+256(39)2948531
+256(77)2712210

 
 
   Kika Ky'olugave
  Kika Ky'olugave (Nnasangwa)

Kyagunjibwawo jjajjaffe Mukiibi Ssebukko Ssalongo Nantetloolwa.

Ekitabo ky'Ebfaayo ekiyitibwa AMANYA AMAGANDA N'ENNONO ZAAGO ekyawandikibwa Micheal B. Nsimbi kiraga ku muko gwakyo ogwe'e 170 nti "Ebika byabaganda
bye bibiina by'abantu ab'omusaayi ogw'enda emu
n'obujjajja obumu, nga buli kika kirina
Omutaka Ndugwa Grace Ssemakula Musoke (Ndugwa Aliko Kati)

obubonero bwakyo obwawufu era obukulu ennyo busatu"

(a). Omuziro n' Akabbiro nga bw'obiraba ku muko ogusooka
(b). Amannya nga bwegatuumibwa mu Kasolya ne mu Masiga
(c). N'Omubala nga bwegulabise ku mukoogw'okumwanjo

EBIKA BY’ABAGANDA

Eggwanga ly’Abaganda lyawuddwa mu bika eby’enjawulo wansi wa Kabaka. Ebika byonna bikulirwa abataka abakulu abayitibwa ab’Obusolya ng’abo bali wansi wa Ssaabataka, Ssabasajja Kabaka wa Buganda. Buli kika kirina obutaka oba ekiggwa gye kisibuka ng’obutaka obwo ge maka ga jjajjaabwe omubereberye eyatondawo ekika ekyo.

Ebika byonna nga bwe tubimanyi olwa leero tebyaliwo mulundi gumu mu Buganda.Okusooka waaliwo ebyasookawo olubereberye era ebyo biyitibwa Binansangwa nga bye bino: Lugave , Effumbe, Engeye, Olugave, Enjaza, Kakoboza n’Ennyange. Ate ebirala byajja ne Kabaka Kintu bwe yajja okulwanyisa Kabaka Bemba, oba byajja byokka okuyingira mu Buganda.

ENTEEKATEEKA Y’EKIKA

Ekika kibeeramu abantu bangi era olw’obungi bwabwe bangi tebamanyagana mu buntu naye nga balina ekibagatta n’okumanyagana gamba nga omuziro, amannya n’omubala. Newankubadde ng’obuzaale buba bungi ate nga bwa njawulo naye waliwo we bwegattira nga bugenda buyingira mu bunnaabwo nga butandikira mu mayumba, mu mpya, mu nnyiriri, mu mituba ate emituba ne gyegattira mu masiga olwo amasiga ne gafundikirira mu kasolya ekitikkiro ky’Ekika kyonna.

AKASOLYA

Ebika byonna bikulirwa Abataka abakulu abayitibwa ab’Obusolya. Omukulu w’ekika oyo y’abeera ku kasolya k’ekika era nga buli nsonga ezo munda mu kika zifundikirwa mu kasolya. Okugyako enkaayana mu bukulembeze bw’ekika eziyinza okutuuka ku Ssaabataka nga ziyita mu lukiiko lwe olwa Kisekwa, mu nkola eya bulijjo enkaayana zonna zisobola okutereezebwa ku mitendera egy’enjawulo mu nteekateeka y’ekika.

ebirala>>    

Send SMS
Email (login here)
Get email address